Omulamuzi wa Kkooti enkulu etuula e Mukono Florence Nakacwa alagidde Standard Chartered Bank egatibwe ku musango ogwawabwa kampuni ya Liberty ICD olw’okulemererwa okugisasula ensimbi eziwerera ddala obuwumbi bubiri nga zakugiterekera mmotoka ne koteyina okumala ebbaga lya myaka ebiri olwo esobole okufuna omukisa okwewozako.
Nga bayita mu ba Puliida babwe aba K&K Advocates, kampuni ya Liberty ICD Limited nga bakola gwakutereka by’amaguzi nga emmotoka ne kotayina basaba Kkooti eno okugatta Standard Chartered Bank ku musango ogwo bagivunanire wamu ne Ligomarc Advocates.
Mu musango gwebawaba nga January 31, 2023, omu ku bakulira Liberty ICD Limited, Fauzia Karmali agamba nti kampuni yabwe yatukirirwa ba Puliida abava mu Ligomarc Advocates nga mwemuli Ruth Ssebatindira, Kabito Karamagi, Joshua Ogwal ne Olivia Matovu Kyarimpa nga bali bakolera Standard Chartered Bank nebabasaba ekifo baterekemu emmotoka ne koteyina.
Okusinzira ku biwandiiko ebyaretebwa mu Kkooti ebintu ebyo byali byamusiigo ogwawebwa Bank eno aba Threeeways Shipping group basobole okwewola ensimbi obuwumbi 27.7 nga 10/6/2015.
Kampuni ya Liberty ICD egamba nti eky’obutabasasula kuba kulemererwa kutukiriza ndagano nti n’olwekyo bagala bariyirirwe obukadde 206 .
Bwabadde awa ensala ye Omulamuzi Nakacwa agambye nti Bank erina okugatibwa ku musango guno esobole okukiriza oba okugana nti ba Puliida ba Ligormac Advocates bali bakolera bbo oba nedda.
Nakacwa aragidde omuwabi (Liberty ICD) okukyusamu mumpabaye ayongereko Bank eno era agiwe obubaka obwo obutasuka nnaku kuminatano okuva Kkooti weweredde ensala eno nti kuba etekeddwa okwewozako lwaki terina kusasula nsimbi za kifo mweterese ebintu byayo okutuusa leero ng’ate kigambibwa nti ekyo kyakolebwa ku biragiro byayo.