Omusumba Samuel Lwandasa awadde abazadde amagezi okwagazisa abaaana baabwe okukuuma obutonde bwensi.
Lwandasa era omukulembeze wa Love Peace and Unity Pastor’s Destiny Forum Uganda bweyabadde kumukolo ogw’okusabira abayizi ku ssomero lya Excellent Nursary and Primary School e Namugongo yategezeza nti okukuuma obutonde kiyamba okukendeza ebbugumu.
Yagaseeko nti mungeri yemu kitangira amataba n’ omuzira bikyaka buli nkuba lwetonya.
Ono era yasabye abakulira masomero saako n’abazadde okwatiza awamu nga basasulira baana baabwe ebyetagisa wamu n’okubagazisa okusoma amasomo engebyemikono, kino nga kyakubayamba okufuluma mu massomero n’ebaaluwa ezenjawulo.
Ye Omutandisi w’essomero lino John Kabuubi alaze okusomoza kwebayitamu bwegutuuka mu kusomesa amasomo gomumutwe okuli ebbula lyebikozesebwa.
Mungeri yemu era alaze okusomoza kwebikozesa ebirala omuli ebyuma bikalimagezi saako n’ebirala ebigwa mukowe eryo byagambye nti nabyo byakekwa gyebali nga yadde abayizi bangi badyagadde okwenyingira mu massomo ganno bwatyo.