Bya Tonny Ngabo
Abatuuze muggombolola yomubizinga bye Bussi mu district ye wakiso bavudde mumbeera nabatabukira minisitule yebyettaka muggwanga nga bagirumirizza okwokobaana nabamu beeyita bannanyini ttaka eririko abatuuze abakunuukirizza mu mutwalo mulamba nga lituudde ku block 554 okubagobaganya nga tebesiikidde kanyebwa.
Abatuuze banno okuli nabalinako ebyapa wamu nabebibanja basinzidde mulukiiko olutudde ku kyalo Naakusaza nebategeeza nga bwebagudde mulukwe olwa minisitule eno okwagala okubatwalako ettaka lyabwe mulukujjukujju liwebwe baamusiga nsimbi ,
Bagamba kyebatandikiddeko kwekutagulula Block eno 554 nga bagamba nti ebadde yegatawamu ne block 571.
kyoka oluvanyuma eno neweebwa bazzukulu ba Adonia Mukasa beebalumiriza okubanga bamazze ebanga erisoba mumyaka 20 nga abakaabya endubaale.
Ssentebe weggombolola eno Mukalazi Charlse Ssenkandwa agamba nti ekisinga okwenyamiza nti abakulu mu minisitule eno tebasoose kuvaayo kubeebuzaako nga abakulembeze wabula nabo ebigenda mumaaso baabyekanze ekibawaliriza okuvaayo okwekubira enduulu abantu babwe basobole okuyambibwe.
Ye Nsubuga Solomon Mukasa abatuuze gwebalumiriza okubeera emabega wemivuyo gino nga nebazzukulu ba Adonia Mukasa ategeezezza nga abatuuze banno bwebagala okufuulira mukitti nga embazzi kubanga bazzenga bamutuukirira nga nabasinga yazenga abaguzza kuttaka lino
Wabula atte ye omwogezi wa Minisitule ya lands Denis Obbo mukwogerako naffe akakasiza nga enteekateeka zokukyusa blocks zettaka bwekitali Bussi wokka wabula asabye abatuuze okusooka okulindako bamalirize omulimu guno nga oluvannyuma baakuyita olukiiko lwabatuuze olwawamu okubabuulira ekyenkomeredde.
Ebizibu byettaka mu district ye wakiso byeyongedde esanji zino nga Kati buli kyalo waliwo abakaaba olwa abantu ababalaaliika okubasengula kuttaka lyabwe