Lyabadde ssanyu jereere nga bazzukulu ba Mugema abeddira enkima balambuza Jjajjaabwe abazzukulu abawangaalira mu bitundu eby’e Buddu ne Kooki okusobola okunyweeza obuwangwa n’obulombolombo bwekika.
Jjajja Mugema Charles Nsejjere Mugwanya Katumba owa 32 yatandikidde mu kitundu ky’e Masaka ku Greenville era nga wano abazzukulu baamwanirizza n’amaanyi mangi nabakuutira obutasuulirira nnono bajjajjaffe jebaalekawo esobozesezza okukungaanya abo bonna ab’ekika.
Wano Jjajja Mugema yakuutidde abazira nkima okubeera ngabafaayo nnyo okumanya ebifa mu kika kyaabwe kisobozese abaana n’abazzukulu abaliddawo bamanye ekika gyekizze kiyita okutuuka wekiri.
Omukulu w’ekika ky’enkima yawerekeddwaako Omubaka w’ekika mu ssaza ly’e Buddu, Omwami Kimuli Kiggundu eyakuutidde abazzukulu okufaayo okumanya emirimo gy’ekika era bagitambulize ku buli mutendera nga batandikira ku byaalo okutuuka waggulu ku Jjajja Mugema.
Abazzukulu oluvannyuma beyongeddeyo e Jongoza mu Kalisizo mu maka ga bazadde b’omuzzukulu Lukwago John Paul era omubaka w’essaza ly’e Kyotera.
Wano baakubiriziddwa okunywerera ku mpagi za Buganda ettaano era n’okubeera n’empisa ezomubantu naddala nga bali ku mirimo gyaabwe mu kuwereza abantu.
“Njagala okubajjukiza nti ffe ab’ekika ky’enkima, ffe tutuuza Ssabasajja Kabaka ku Namulondo, ekitufuula ab’enkizo mu bika ebirala. Kino kitegeeza nti tulina okubeera eky’okulabirako mu bitundu gyetuwangaalira”, bwatyo Jjajja Mugema bweyafalasidde abazzukulu.
Yayongedde nabakubiriza okubeera obumu ate n’okukolagana obulungi n’ebika ebirala kibayambe okwekulakulanya mu maka gyebava babeere mu bulamu obweyagaza era obwegombesa.
Ye omubaka Mpalanyi yebazizza Jjajja Mugema olw’okubasuulira omwooyo nabajjukira nga abazzukulu nabalambula ekintu ekibasobosezza okulabagana n’okumanyagana ne bannaabwe abawangaalira mu bitundu ebirala.
“Bwetubeera n’ensisinkano nga zino, kituleetera okuddamu amaanyi netumanya nti tulinayo baganda baffe ababeera mu bitundu ebirala. Kino kitegeeza nti omuntu bwabeera n’obuzibu, kyangu kyakekubira nduulu mu b’enganda nayambibwa okusinga okulemererwa”, bwatyo bweyategeezezza.
Jjajja Mugema yagenze mu maaso natalaaga ebitundu by’e Kakuuto gyebaakumidde n’ekyoto awakungaanidde abantu ab’enjawulo nebawangana amagezi ku butya bwebayinza okukuuma ennono ate n’okumanya ebintu eby’enjawulo ebifa mu Buganda naddala eby’obuwangwa.
Abazzukulu wamu n’ab’ebika ebirala baakubiriziddwa n’okwettanira okulima naddala emmwaanyi n’amatooke nga bakozesa ennima ey’omulembe kibasobozese okufuna ensimbi wamu n’emmere eyokuliisa amaka gaabwe.
Okusobola okukkaatiriza ensonga eno, Jjajja wamu n’olukiiko lwe bagenze mu maaso nebalambula omu ku balimi nakinku amanyiddwa nga Haji Ediriisa Ssentongo awangaalira mu Kyakkonda e Kyotera era namwebaza olw’okubeera omulimi w’emmwaanyi eyegombesa abalimi abalala mu kitundu.
Ono yamusabye amagezi gakozesa okulima agagabaneko ne banne mu kitundu basobole nabo okuva mu mbeera embi kibasobozese okuwerera abaana ate n’okwetuusaako ebyetaago ebyetaagisa mu bulamu obwabulijjo.
Jjajja Mugema yeyongeddeyo mu bazzukulu be abawangaalira e Kooki bwatyo nabasaba okukuuma amannya g’ekika nga gatuumibwa abaana n’abazzukulu.