Ekibiina kya National Unity Platform mu kibuuga Mukono kitandiise ku kawefube w’okuwandiisa abantu abappya abagala okwegatta ku kibiina kyabwe munkola eya nju ku nju.
Bano nga bakulembeddwa munnamateka George Musisi bagamba nti bakizudde ng’abantu bangi abagala okwegatta ku kibiina naye tebamanyi webasanga kaadi.
Ono abitaddemu engatto okutambuza omulima guno ng’akadirisa kokuwandiisa abantu tekanagalwawo.
Kawefube ono bamutongoleza mu division ebbiri ezikola ekibuga Mukono okuli Goma ne Mukono Central Division.
Kyokka yadde kiri bwekityo n’ ebifo ebikunganya abantu abangi okugeza obutale, stage za bodaboda n’ebirala tebabisudde muguluka.
“Ekibiina kiggumira bantu naye abakulembeze baffe babadde tebanakola kimala kuwandiisa ba member bapya kyova olaba tusazewo tujje n’enkuuba empya. Kati buli mukulembeze tusaba okozese ekiifo kyo okukakasa nti ekibiina kifuna abawagizi era neba member abappya” Musisi bweyategezeza.
Abakulembeze abetabye mukawefube ono okuva ku lukiiko lwa Mukono municipality nga bakulembeddwa amyuuka sipiika Rogers Bazanya bagamba nti entekateka eno yeyoka eyinza okuziba emiwatwa mu buwagizi bw’ekibiina mu kitundu kya Mukono Municipality.