Oluvanyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okukiriza abagala obubaka bwa parliament okutandika okunonya akalulu akabayingiza parliament olunaku lweggulo nga 10/November 2025, akwatidde ekibiina kya NRM bendeera ku kiifo kya Mukono North, Ronald Kibuule Ssalongo yatandikidde mu muluka gwe Ntonto mu gombolola ye Kyampisi gyaleese ng’abaayo batenda.
Abawagizi b’ekibiina abakedde okwenaniika engooye z’ekibiina ezisuuta eyaliko omubaka wabwe Ronald Kibuule ne President w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni babukereza nkokola okweyiiwa ku ssomero lya Namasumbi UMEA Primary School okwaniriiza omubaka wabwe nokumutegeza ebibaluma.
Bano basoose kwetondera Kibuule olw’obutamuwa bululu kuwangula ekisanja ekiwedde naye nebamutegeza nti obwa “Mulekwa” bubali bubi kubanga omubaka eyalondebwa ekisanja kituuse kugwako nga bamunonya okumutegeza ebibaluma naye nga mpawo mwagannya mwebayinza kuyita kumutukako.
”Sebbo Honourable tusomozebwa ebizibu by’amassomero amabi, tulina ekizibu ky’amazzi amayonjo, amalwaliro omutali ddagala, abavubuka obutaba na mirimu, enguddo embi wamu n’ebirala naye nga tetulina ayamba” abawagizi bwebanyonyodde.
Omubaka Ronald Kibuule mukwanukula bano abagumiza nti ebibasomoza byonna abimanyi era ye ng’akwataganye ne President Museveni bebalina eky’okuddamu eri ebisomooza abantu be Ntonto so si banabyabufuzi ba ddikuula abajja eri abalonzi ate nabo okubalajanira buli kiseera ekiifo ky’okukola ku buzibu byabwe.
”Njagala ku mulundi guno mulonde Bus yokka kubanga NRM yerina vision y’eggwanga lino era yeyoka erina eky’okuddamu ku bisomooza abantu bawansi sso si babaka abekkusa boka bemwalonda ku mulundi guli” Kibuule bwabategezeza.
Agenze mu maaso nabategeza nti ebizibu omuli ebbuula ly’emirimu mu bavubuka bimusula ku mutwe nga nviiri era ng’agenda kusikiriiza banamakolero okwetaniira ekitundu kino olwo basobole okuwa abavubuka emiriimu.
”Okutandiika amakolero ly’erimu ku makubo amangu mwetuyinza okuyita okuwa abantu baffe emirimu naddala abavubuka bsobole okubeera ne ssente mu nsawo. Kino gavumenti egenda kukikola ng’eyita mukuzimba enguddo olwo banamakolero bajje mu kitundu” Kibuule bwategezeza
Essawa olwakonye ekkumi n’ebbiri ezibalagirwa mu mateeka nawunzika olukungaana olwo endongo kasigu netandiika era nga abayimbi okuli Khalifa Aganaga yasoose okusumulula olwo band nayo netandiika okusindogooma.
































