Akwatidde ekibiina kya NRM bendera mu Mukono North Ronald Kibuule Ssalongo asabye abalonzi mu district ye Mukono okwewala n’okwegendereza abakulembeze ba ddikuula ababawudiisa nebabajja ku mulamwa nga kyokka bbo bakusa mbuto zabwe.
Ono abalabudde ku mubaka Betty Bakireke Nambooze abadde akikirira ekibuuga Mukono agenda awudiisa abantu nti alwanyisa President Museveni kyokka nga naye afuuse kitta ekitava ku ssengejjero era nga buli mulundi alimba bannaMukono nga bwalwanyisa gavumenti.
“Ebyo byebabalimba mbu enkyukakyuka, enkyukakyuka yabwe teri kwabo azira ssente era bwokebera list ya parliament abafunye ez’omubumooli abo bebasokayo, mwe temwaziwulira ezabatabula. Kati leero ono e Mukono agira bwalwalamu nga gavumenti emujanjaba” Kibuule bwagamba.
Kibuule era ategezeza nti ssente gavumenti zekozesa okujanjaba Nambooze singa baziwa Mukono nga district singa tulina eddwaliro erisinga Mulago.
“Gavumenti yayonona obuwumbi busatu (3b) okujanjaba Nambooze, singa yazituwa e Mukono singa tulina eddwaliro erisinga Mulago. Simwagaliza kuffa naye yatusiba akawani, teyali mu ddwaliro yali akyadde kali kawani, yajja nakaveera naye kati asuula mu kalina” Kibuule bwayongeddeko.
Wabula nemu kalulu ka Mukono Municipality kisa kinegula Hanifah Nabukeera omubaka omukyala owa Mukono district nga kati avuganya ku bubaka bwa Mukono Municipality bwavudeyo nalangira Nambooze obwa Nakyemalira n’okusiba effuga bbi mu district ye Mukono.
Nabukeera agamba nti ekiseera kituuse Mukono efune abakulembeze abagirumirwa okwawukana ku Nambooze azze alwanyisa enkulakulana wamu nebakulembeze bane ekiviriddeko Mukono okukwebera.
”Nambooze awooza mbu alwanyisa Museveni naye alimba yenonyeza bibye, emyaka 20 talina yadde kyagasiza bantu bakikirira era bwajja wano njagala mumubuuze byabakoledde” Nabukeera Ono yegatiddwako ssentebe wa district ye Mukono nga naye ayagala kukikirira Mukono Municipality alumiriza Nambooze okumulwanyisa ng’awereza bannaMukono kyokka oluvanyuma nalumiriza bane okukolagana ne gavumenti.
”Tosobola kubera mukulembeze ng’olwanagana ne gavumenti ate nga yetuwa byetukozesa, buli atakanya naye ng’afuna kyamuwayiriza kyova olaba kati tuze okununula Mukono okuva mu mikono gya Nambooze atalina kyagasa muntu wa wansi” Bakaluba.
Omulangira Allan Mawanda akwatidde ekibiina kya Democratic Front bendera alumiriza nti ekibuuga Mukono kibaddemu endegeeya ezikola omulimu gumu gwakulekaana nakusasamaza wabula ng’obuwereza eri bana Mukono mye kyagamba nti singa bannaMukono tebasitukiramu kwerwanako balina kwenenya bokka.
”Nze muto ssi mu myaka naye kubona abali mu lwokano, naye kambalabule nti bwolonda amaze emyaka 20 mu parliament kimanye nti agenda kugula nnyumba mu America, bwolonda alina amassomero kumi,agenda kunonya kwongerako malala sso nga bwolonda eyajja n’obusungu mbu ekibiina ekimu tekimuwadde card obeera oziise kalulu ko.
Kati nze kyakuddamu bannaMukono kyebanonya okubatasa bafune obuwereza obwegasa” Mawanda bwagamba Mawanda era alabudde abalonzi ababinuka ku mottoka za banabyabufuzi nti bakimanye omugabo gwabwe gwegwo era nabatayira olw’obussente batunze busika bwabwe.
”Tosobola kuwagira muntu azze yewera nga bwalese obuwumbi busatu abuyiwe mu kalulu ng’agula ki? Kimanye bwatuka mu parliament okwagala okuzza ssente ze alina kutunda biteeso byammwe ”
Wabula Nambooze agamba byonna ebimwogerwako abiwulira naye amannyi essawa eno agatadde kukujjako President Museveni sikwanukula bamulima mpindi ku mabega.
































