Mukono. Embeera yakabuyonjo ku wofiisi y’omubaka wa pulezidenti e Mukono etadde obulamu bw’abakozi mu kifo kino n’abagendayo okufuna obuwereeza mu kiseera ekizibu.
BannaMukono abagenda ku wofiisi eno naddala ku nsonga z’ettaka bagamba nti bekunizabwekuniza olw’ensonga nti tewali kabuonjo wakyamirwa.
Wano waliwo kabuyonjo yakaziggo kamu atenga nayo ekutte mumbinabina era nga ekiseera kyonna ebeera aggaddwa olw’omuwendo gw’abantu omunene ogukolebwako, basaba b’ekikwatako okutunula mu nsonga eno.

Mu bifo ebirala abantu webasanga obuzibu kweku kitebe kya district nga eno obuyumba obukyamirwamu buli munda wa kizimbe nga n’ebiseera ebisinga kutekebwako kufuulu ekileetera abagenda mu wofiisi ez’enjawulo okukalubirirwa ekisuuse.
Abasing okukosebwa bebaana abato ababa baletedwa mu office ya probation olwobutabanguko mumaka nebasiiba awo olunaku lulamba nga tebalina webakyama nekidirira kwebulungula nebamansa oukyafu buli wamu.
Omu kubatuuze okumpi ne disiturikiti atayagadde kumwatukiriza manya agamba kino kiwadde omukisa abantu okweyunira ekibira kya pine ekibaliranye okusobola okwetawuluza. Oluusi beyuna emabega webizimbe ebiririnyewo.
Bbo abakozi ba disiturikiti bali mubwelarikirivu nti abantu abasinga bwebava eyo batukira muyafeesi zabwe awatali yadde okunaaba mungalo ekintu ekiyinza okubawereba endwadde. Kabuyonjo eziri wabweru kutibe zajjula era nezitebwako kuffulu.

Abamu ku bakulembeze okuli eyaliko omukubiriza w’olukiiko lwa district eno Emmanuel Mbonye ne Lukeman Ssegayi ow’e Goma bagamba nti balaajana dda ku nsonga eno naye nga mpawo bakulembeze kyebakolawo.
Bano bagamba nti abantu abeyunira wofiisi zino bakalubizibwa okunonya kabuyonjo ezolukale mukibuga wakati ate nga nazo zakusasulira.

Mukwogerako n’omumyuka wa Ssentebe wa district eno Asuman Muwumuza agambye nti ensonga eno egenda kukolebwako mu mbalirira eddako nga ku kitebe bakuzimbawo kabuyonjo bbiri nti naye wofiisi y’omubaka wa gavumenti yoyefeeko yokka.
Tetusobodde kwogerako n’akulira abakozi (CAO) Elizabeth Nammanda ne Rdc Fatumah Nabitaka Ndisaba ku nsonga eno lwansonga tetusobodde kubafuna.