Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’e ggwanga Thomas Tayebwa akalatidde abakulisitayo okwewala entalo z’ediini wabula bafeeyo nnyo okukola bafune ensimbi bawereze Omutonzi.
Tayebwa agambye nti okugugulana mu by’ediini tekiyamba nti kuba tekirina kalungi konna nti nga n’olwekyo bannansi basanye bakole emirimu egivamu ensimbi bazimbe obwakabaka bwa Katonda.

Tayebwa okwogera atyo abadde mugenyi mukulu ku mukolo Lutiiko ya batukuvu Firipo ne Andrea e Mukono kwejjaguliza okuweza emyaka 39 ng’obulabirizi obwetongodde nga bwakutulibwa ku bw’e Namirembe era nga wabaddewo n’okutema evvunike ly’okuzimba Lutiiko empya.

Ssabalabirizi w’e Kaniisa ya Uganda kitaffe mu Katonda The Most Rev Dr Stephen Samuel Kazimba Mugalu asiimye emirimu egyakolebwa omulabirizi w’e Mukono eyasookera ddala omugenzi Dr Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo olw’okubuwa omusiigi ogubufudde eky’okulabirako.
Dr Kazimba akunze abakulisitayo okusonda ensimbi ez’okuzimba Lutiiko empya nti kuba eno eriwo kati yazimbibwa kubeera Kaniisa ya busumba mu kiseera ekyo, so si Lutiiko nti nga n’olwekyo balina okuzimba Lutiiko yenyiini ddala.

Tayebwa aleese obukadde bw’ensimbi amakumi abiri (20 millions) okuva ew’omukulembeze w’eggwanga ez’okuzimba , naye awaddeyo obukadde kumi ne Minisita omubezi ow’eby’ensimbi Amos Lulogolobi obukadde butano.
Obuwumbi obusoba mukumi bwebwetagibwa okuzimba Lutiiko nga ku mukolo obukadde obusoba mukikumi n’omusobyo zezasondeddwa muburiwo.