Omukyala asiinga okuwemula mu gwanga lya Uganda, era nga ono Kakensa mu tendekero ekkulu erya Makerere University, Stella Nyanzi akwatiddwa polisi oluvanyuma lw’okuwemula mukyala Janet Museveni muk’omukulembeze we ggwanga lya Uganda.
Kino kiretedde banayuganda okulowooza nti omukyala ono yandiba nga y’omu kubali mu kawefube w’okwonnona engwaga oluvvanyuma lwekiri nti ate ono musomesa mu tendekero ekkulu.
“Oba abaana baffe abasomesa kuwemula?” Omu kubatuze e Mukono bweyalabise nga yewuunya