Ssentebe we kibuga mukono ekyomumasekati (Central Division) Robert Peter kabanda agugumbudde abamu ku bakiise mu lukiko lwakulembera olwokwekakatika kumirimo gitali jjabwe.
Kabanda agamba bangi kubano begumbulidde omuze omuze gwokugendanga mu masomero nadala agobwananyini nebatisatisa abatandisi bago wamu nabagadukanya nga bwebagenda okugagalawo lwabutaba nabisanyizo.
Ssentebe agamba ssibuvunanyizibwa bwabwe nga abakise mu lukiko lwa divisoni okuggalawo amasomero gano agatatukana namutido wabula balina kuwa kiragiro wakati mu lukiiko (council)olwo abakozi ba gavumenti (technical team) balyoke batekese munkola ekiba kisaliddwawo.
Bakansala abegumbulidde omuze guno bakikola nekigenderelwa kyoku nonya ensimbi mu bakulu bamasomero kyoka nga ssi bebavunanyizibwa kunkola eno.
Okusinziira ku Ssentebe obwo buba bubbi obwenkukunala. Aweze nti ketonye kagwake mpawo muntu nomu agenda kukirizibwa kukola mirimu zitali mubuvunanyibwa bwe.
Bino byona byabadde mu lutula lwo lukiko lwe kibuga mukono ekyomumasekati olwatuzidwa ku kitebe Kya mukono central division.
Newankubadde bino byona ssentebe abyogede mpawo muntu yenna gwanokodeyo akola ekikolwa kino ekirese nga banji kubo batolotoma nga enkoko enywedde amazzi amanabemu ku kyalo kwekulidde.