Omwami wa Ssabasajja amulamulirako essaza Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga Mulembya asabye abakulembeze ku mitendera egitali gimu okusosowaza obumu n’okusonyiwagana ng’empagi kwebalina okutambuliza obuwereza mu mulembe Omutebi.
Okwogera bino asinzidde mu gombolola ya Ssabaddu-Ntenjeru bwabadde yetabye ku mukolo ogwategekeddwa Ssabaddu Richard Ssekajja n’ekigendererwa eky’okukuba ggwanga mujje, abantu ba Bbene basobole okumuddukirira asobole okuzawo olubiiri lwa Kabaka olwakubibwa kibuyaga jjebuvuddeko.
Ssekiboobo alabudde nti kikakata ku buli mukulembeze okukulembeza okusonyiwagana buli awaba ekisobye kubanga abalabe ba Buganda ate banguyirwa okukozesa emiwatwa gy’enjawukana okulima Buganda empindi ku mabega.
“Ezimu ku nsonga semasonga mu Buganda bwe bumu, abagala Buganda bangi naye nabatulwanyisa bangi. Mu mbeera efanana bweti tutekeddwa okusonyiwagana okusobola okuwangula ebitusomooza, abazadde mwongere okubulirira abaana basobole okukula nga balimu ensa tusobole okufuna abakulembeze abaliddako” Ssekiboobo anyonyodde
Omubaka wa Mukono South mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Fred Kayondo alopedde Ssekiboobo nti waliwo banakigwanyizi naddala wano mu Kyaggwe ate abesowoddeyo okuvvoola Namulondo nga bakozesa emitimbagano kyagamba nti kikyaamu era ensi erina okugatta amannyi okukuuma n’okutaasa Namulonda.
Kayondo era asabye obwa Kabaka obutasirika ng’abakulembeze abazimbiddwa wano mu Buganda basanyizibwawo banakigwanyizi olw’ebigendererwa ebirubiriddwamu okweyagaliza ng’abantu.
“Ssekiboobo kiriza nkulopere nti abalumbagannyi baze bamaliridde okusanyawo abakulembeze abazimbiddwa wano mu Buganda, nga Buganda tulyazamanyiziddwa ebbanga ddene naye ku luno tetugenda kulandiza kibaze, abantu b’e Koome bakaba lwa mundu ezajja ku mazzi era abantu bano tulina okubambalira” Kayondo akatiriza
Ssabaddu Richard Ssekajja ategezeza nti ekitiibwa ky’egombolola ya Ssabaddu-Ntenjeru-Nanfumbambi kibadde mu lusuubo ebbanga lyonna olubiiri lwa Bbeene lye lumaze nga lugudde. Omutanda yakuba embuga e Ntenjeru mumwaka gwa 2018 wabula yasanyizibwawo kibuyaga jjebuvudeko.
Ono era asabye buli muntu okumukwasizako ekitiibwa ky’Empologoma kirabikire mu mirimu egikolebwa mu kitundu kino.
Olukiiko oluwomye omutwe mu ntekateka eno lutuulako abantu 16 era ssentebe walwo Ssalongo Saul Wamala atubulidde nti omulimu guno gwakuwementa obukadde 24,130,000 nti era bakugutandiika mbagirawo.
Omuwaniika ku lukiiko Samwiri Baliruno atubulidde nti basobodde okusolooza obukadde obukunukiriza mu kkumi n’omusanvu (17,000,000) mu buliwo, obukadde 3,250,000 kko n’ensawo za seminti 32 n’embuuzi 2 era nga balina essuubi nti omulimu gugenda kutambula bulungi.
Abantu ku mutendera gwa ssekinoomu, ebitongole, amassomero, n’abakulumbeze bebasonze ensimbi okuddukirira omulimu guno era ng’omubaka Fred Kayondo yawaddeyo obukadde obusoba mu butaano ng’okwogase n’ebintu ebikalu era nawera okufafagana n’omuntu yenna ajooga embuuga.