Abayizi abasoma amateeka (Law) okuva ku Ssetendekero wa Makerere bagenyiwaddeko mu yafeesi yomumyuka womubaka wa president atula e Mukono Mike Ssegawa.
Bano nga bakurembedwamu muyizi munabwe Mudondo Alexedarea banyonde omubaka wa president nga bwebaze mu yafeesi eno okubanyonyola kubutya entambuza yemilimu bweri.
Wano Ssegawa abayisiza mu ssemateka afuga egwanga lino enongoseleza yomwaka gwa 2018 wamu nowa gavumenti ezebitundu (Local Government Act) nabategeza nti bwebanaba bakukola mirimu nga bamaliriza okusoma basanye okutunula enyo era nokugoberela amateeka.
Omuyizi Namuli Cynthia asabye okulungamizibwa lwaki abakulembeze batwalibwa e Kyankwagazi (National Leadership Center) okubangulwa atenga waliwo ssemateeka.
Ssegawa amutegezeza nti ebifo nga ebyo bitekebwwo kubangula bakulembeze nakwejukanya (Refreshment) okusobola okwewala ensobi mu byebakola nawa ekyokulabirako ekyabwe nga ababaka ba president bwebatwalibwayo amangu Ddala nga bakakwasibwa yafeesi.
Kyakuwadde Phionah omuyizi omulala asabye okutangazibwe kubutya bwebagonjoola ensonga ezabasowaganye kuttaka.
Ssegawa anyonyodde nti bafuba okutuuza enjuyi zombi nebabatabaganya nga basinzira kumateeka gettaka wabula bwebagana okukanya babasindika mu court era nabategeza nti bakolela wamu ne office ya ssabawolereza wa gavumenti nadala kwejjo emisango ejjiba jibazingiddemu bbo nga yafeesi yo mubaka wa president.
RDC bwabuzidwa ku misango jjebasala wabula newabawo abatabadde bamativu babewala batya obitabatusako bulabe.
Abazemu nti balina enkolagana enungi nebitongole ebirala ebikuumaddembe nti nebwoba okubye ssimu, yafeesi RDC ssiyesokayo wabula bakolera wamu ne yafeesi ya bambega ba gavumenti (DISO)okusobola okumanya ensonga ngabwezitambula.
Mubibasomooza byanyonyodde abayizi mulimu bannabyabufuzi abawakanya ebituufu nebikyamu atenga balina kuwabula gavumenti.
Disiturikiti ya Mukono okwawukanako nendala ekulemberwa ba RDCs basattu okuli Fatumah Ndisaba Nabitaka agaitwala yanno, Mike Sseggawa owa Nakifuma wamu ne Rhondha Titwe Kagaaga owa Mukono Munisipaali.
Ssegawa asabye abayizi okwetekateka obulungi wamu no kwetegekera obulungi nga bakola embalira ezabwe olwono basobole okutekesa munkola ebirubirirwa byabwe.
Ayongedde nabasaba okukozesa omutimbagano (Social Networks) nobuvunanyizibwa. Awadde ekyokulabirako Kyo muvubuka avuma Kabaka eyakwatibwa jjebuvudeko nabalabula okwewala ebitabagasa.