Nanyiini ssomero lya Prosper Primary School asimbiddwa mu Kkooti ey’e Nakifuma esangibwa mu district y’ e Mukono ng’avunanibwa gwa kubba mbaata.
Peninah Nabaweesi nga yenanyini ssomero era omukulu walyo saako nokulembera abakyala ku kyalo ky’e Nakanyonyi-Bengaazi ekisangibwa mu Nakifuma Naggalama Town council yawerenemba n’ogwokubba embaata z’o mutuuze we Yusuf Mulumwe.
Kigambibwa nti omusango yaguza nga 6/12/23 bweyagenda mu maka ga Mulumwe nabbayo embaata eziwerera ddala musanvu era nga yatuuzibwa mu lukiiko lw’e kyalo abatuuze nebamulumiriza.
Bwasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka Peter Bukina, bino byonna abyeganye nasaba okweyimirirwa, Kkooti kyekiriza.
Wabula Mulumwe alaze obutali bumativu olwa Nabaweesi okuyimbulwa nategeza nga bwatafunye bwekanya.
Omusango guno gwakuddamu okuwulirwa nga 12/4/24.