Paddy Kakooza omutuuze kukyalo Kikubankima mu Mukono Central division yetuze lwamabanja kumuyinga buzito.
Ono yalesewo akabaluwa akalaga nti nemukyalawe abadde tamuwa kitiibwa
Kakooza abadde kitunzi w’ekitongole kya DYNAPHAM ekitunzi ky’eddagala n’ebizimba omubiri wamu nokubuliira enjiri.
Abatuuze bagambye nti Kakooza azzenga ababulira ku bizibu bye naddala obutakkaanya wakatiwe ne mukyala we era nga buno buzze bweyorekera mu mirundi emingi gyebazze baddukira mu bakakiiko k’ekyalo okubatawulula.
Mukyala womugenzi nga akola mu katale ka Kame Valley Markert akamanyiddwa nga “Kiko” olutuuse awaka nakola emikolo ejjokweyambulula ebikolimo wamu nabaana.
Ono kigambibwa nti abadde yafunayo nomwami omulala mubudde bwalookodawuni bweyasuliramu mukatale.
Ssentebe w’ekyalo Ezra Bongole akaksizza okufa kw’omutuuze we kuvudde kubutabanguko nabanja agasukiridde. Poliisi omulambo egutute muggwanika e kawolo.