Abakurisitayo b’ ekkanisa ya All Saints Church e Lukaya mu Kalungu bali kuwawefube wa kunoonya ensimbi ezisoba mu bukadde 130 okumaliriza ekkanisa yaabwe.
Ekkanisa eno eri ku mutendera gw’okusereka ku ssande baagisondedde obukadde mwenda oluvannyuma lw’okusaba,okusinza n’okutendereza omutonzi okwakulembeddwa omwawule (Reverend) Julius Muyanja.
Rev. Muyanja mukubuulira yavumiridde ebikolwa by’okutwalira amateeka mu ngalo byagamba nti bicaase nnyo ensangi zino.
Yakuutidde abakkiriza okwongera okukola ennyo n’okubeera n’emmere emala mu maka okusobola okwewala obutabanguko.
Kuddimo elyokuzimba ekkanisa, omusonzi omukulu yabadde omuwabuzi wa Pulezidenti Vincent Bamulangaki Ssempijja eyayise egimu ku mikwano gye okutwaala omulimu maaso.
Mubano kwabaddeko Gerald Ssali, John Baptist Walugembe owa Kalungu Traders, Hajji Jamir Ssempijja, Sulaiman Kaweesi Ssabakunzi wa Office of National Chairman mu Greater Mpigi, Alex Mukasa Ssentebe wa Greater Masaka NRM Foot Soldiers n’abalala abavuddemu obukadde bw’ensimbi mwenda (9).
Ssempijja yagambye nti okujjumbira emirimo gya Katonda kulimu empeera nene nnyo singa omuntu awaayo n’omutima gumu,era n’asaba abantu okweyuna entekateeka y’okubala banna Uganda egenda mu maaso ennaku zino.
Omukubiriza w’ekkanisa eno Disan Lwasa ku lwa Bakristayo asiimye Ssempijja n’abasonze abalala olw’ettoffali lye baggase ku mulimo guno kyokka n’ategeeza nti obwetaavu bukyali bwa maanyi okugumaliriza.
ENDS.