By Eric Yiga
ABASUBUZI abatereka ensimbi zabwe mu UPENDO Market Vendors Multipurpose Co-operative Society Limited (Sacco) esangibwa mu katale ka Kame Valley Markert akamanyiddwa nga ak’omukikko mu kibuga Mukono basobeddwa eka n’emukibiira.
Abasubuuzi abasoba 200 baludde nga batereka ensimbi eziri mu bukadde 500 okumala omwaka mulamba wabula bibasobedde okukabatema ng’ensimbi zino bwezitaliwo.
Banno okukizula nti ensimbi zabwe teziriyo kidiridde abasubuuzi okutandika ogunde okwefunira akasente ak’okubayisa mu Ssekukulu wabula agikulira Samuel Omasale akabatemye nga bwezitariwo mu kiseera kino.
Ono akabatemye nti akawunta kwabadde azitereka mu bank yagitaddeko envumbo ekibajje mu mbeera nebagala okumulya obunyama.
Peter Kayongo omu kubakoseddwa agamba bulijjo bagumu ngabalowooza nti Sacco yawandiisibwa era ng’elondorwa b’ekikwatako.
Asabye b’ekikwatako okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’abasubuzi bafuna ensimbi zabwe. Embeera ewaririza Ssentebe w’abasubuzi bano Geoffrey Sserunjogi okuyita poliisi.
Omukwanaganya wa poliisi n’omutu w’abulijjo e Mukono Nicholas Nabaasa atutte Omasale ababulire sente jjeyaziteeka.
END.