Kasanla Fred Kiyimba owa masekati g’ekibuga Mukono asambira mabega nga jjazi oluvanyuma lwa ba memba b’omukuttu gwa WhatsApp ogwatumimwa ‘Mukono Municipality for All’ ekivunulwa nti ekibuga Mukono ekya bonna, okumugulira amannyo nawona amalibu.
Kiyimba yekubira enduulu ku mukutu ogwo oluvanyuma lw’ omubaka w’ekibuga kino Betty Nambooze Bakireke okukozesa olulimi olumulangira n’okumuyeyanga amalibu.
Kigambibwa mbu Kiyimba amalibu yagafuna oluvanyuma lwakabenje ng’ali ku boda boda. Anenya nnyo Nambooze olw’okukozesanga olulimi olumutyobola n’okumulengeza buli lwaba ng’a mwogerako mulujjudde lw’abantu.
Kasanla era yalaga obutali bumativu olwa Nambooze obutamuyamba kufuna mannyo wabula okukozesa embeera ye okumucokoozanga, era yategeza nga bwasobola okwasa emivuyo n’ebyama bya Nambooze mu by’obufuzi omuli nokugyawo obulamu bwabantu.
Bannamukuttu oluvanyuma lw’okuwulira ebyo, nga bakulembeddwamu omumyuka w’omubaka wa pulezidenti, Mike Ssegawa batandiikawo kawefube w’okumusondera ensimbi agule amannyo.
Kawefube bamutuuma ‘Kiyimba wakuddamu okuseka n’amannyo gonna.’
Ssegawa yakunga ba memba buli omu okusonda ennusu lukumi (1000/=) okuyamba Kiyimba okufuna amànnyo gonna nti kuba okumuyeyereza kwandiyinziza okumuviiramu okutabuka omutwe.
Phoebe Babirye ne Ritah Nandyose ba kansala banne batwala obuvunanyizibwa bw’okuwaniika ssente era ensimbi obukadde bubiri zasondebwa.
Ensimbi zakozesebwa Kiyimba natekebwamu amaanyo omusawo Dr Hussein Ziraba ku ddwaliro lya Mukono Medical Center mu December w’omwaka oguwedde.
Oluvanyuma lwa Kiyimba okuyiga enkozesa y’amannyo mu kwogera, okulya n’okuseka yavuddeyo natekayo ekifananyi kye ku mukutu nga bwalabika kati.
Nambooze anenya nyo Kiyimba olw’okuzanya eby’obufuzi eby’onoona bukyanga avva munkambi ye, agamba nti yasasulanga abayambi bonna mu budde nga mwotalidde ne Kiyimba nti nga n’olwekyo yadikozeseza ku musala gwe okugula amànnyo amazungu.
END.