Kansala Ritah Nandyose nga aliwamu nobukulembeze bwa kkunga mukibuga Mukono badukiridde abayizi kussomero lya gavumenti elya Katikolo P/S.
Bano nga bali munkola eyokulambula embeera yamassomero mukitundu, bagaseko okuwa abayizi abawala ebikozesebwa naddala munaku zabwe ez’ekikyala n’obuyambi obulala omubadde obuwunga bwobugi n’ ebikokooma ebizungu (Toilet Paper).
Kansala Ritah Nandyose akikirira Nsube-Kauga Waadi ku lukiiko lwa Mukono munisipaali asabye abaana okufuuba okusoma babeere bantu bamugaso mu ggwanga n’obutegayalira newankubadde basomera mu massomero ga kyaalo.
Akulira essomero lya Katikolo P/S Winfred Nairuba asabye ab’obuyinza okubayamba babakolere ku kizibu ky’amazzi, amasanyalaze wamu n’e byokwerinda mu kitundu okusobola okukumira abaana b’eggwanga mu mbeera ebasobozesa okusoma.
Nairuba agamba nti ekitundu kyabwe tekirina masanyalaze ng’emirundi mingi nabasomesa bebabawereza bakalubirirwa okujja mu kitundu kino, ate nga n’amazzi gali wala nnyo ng’abaana balina okusiyagukka eggendo okusobola okutuuka ku luzzi.
“Abaana naddala abawala bwebagenda okukima amazzi ewala eyo, ekintu kyonna kiyinza okutuukawo saako okuyiga emizze egitali gimu” Nairuba
Nandyose yeyamye okutuusa ensonga eziruma essomero mubekikwatako. Akatiriza nti amasanyalaze n’ amazzi byebintu ebisokerwako obulamu kwebutambulira ensangi zino.
Ono mu ngeri yemu addukiridde obukulembeze bw’ekyaalo kya Katikolo n’amasuwaani wamu n’ebikoppo bibayambeko mu kiseera naddala ekya munnomukabi.