Mukono. Jjebuvudeko gavumenti yabakana nekawefube wokuzimba omwala gwokukyalo lwezza ekisangibwa mu muluka gwe Namumira mu Munisipaali ye Mukono.
Omuga guno gwabotoka negugwamu omwaka oguwedde, newankubadde gavumenti yatongoza okuguzimba, abatuze bagamba nti omulimu guno gutambula kasoobo era bali mubwelarikirivu nti enkola singa enkuba bikocho eddamu ofudemba.
Abamu kubantu betusanze bayita ku lutindo olwatekebwawo munkola ya bulungi bwansi bagamba nti buli enkuba bwetonya kibawaliriza okwetolola nebayita e Wantoni olwokutasa obulamu ngabatya okugwayo.
Olutindo lukozesebwa abantu abagenda ku mirimu ejenjawulo wamu nabaana bessomero.
Kansala akikirila omuluka gwe Anthony-Namumira kulukiiko lwa disitirikiti Ssemakula Julius ategezeza nti nga abatuze bakolako kyebasobola ngabayambibwako omubaka wekitundu, Betty Nambooze munkola eya bulungi bwansi wabula kati ebyokuzimba byakwasibwa munisipaali ye Mukono.
Ssemakula agamba nabo balinda kiddako oluvanyuma lwa minisita webyengudo, Gen. Katumba Wamala okulangirira mulwatu nti ensimbi zomwala ogufuuse ogwobulabe zawebwa munisipaali.
Meeya wa Munisipaali ya Mukono, Erisa Mukasa Nkyoyoyo atutegezeza nti ye nolukilo olwekikugu lwafuna Dda ensimbi obukadde 4500 kubukadde 600 ezabasubizibwa gavumentiyawakati okusobola okola omwala mubbanga lyamyezi ebbiri.
Alaze okutya okutya olwa bakulembeze bane bagamba nti baze mukulwana entalo mukifo kyokulakulanya e kibuga kye Mukono.
Wetutukidde ku mwala guno nga waliwo emitayibwa ejarekebwa awo ttayo kyoka nga tewali kabonero kalaga nti banagenda mumaaso nokumaliriza omurimu guno mubbanga lyamyezi ebiri.