ABASIRAMU ku muzikiti omukulu e Mukono (Masigid Atiq) bavudde mu mbeera nebagaana banabyabufuzi okwogera wakati mu kusaala eid okukulembeddwamu Hajji Mustafa Lule.
Entabwe evudde ku babadde bakulembeddemu swala okutegeza ng’okusaala bwekubadde kulina okutandiika ku ssaawa ssatu kitundu, wabula neziwera ssaawa ssatu neddakika attaano nga bakyayanjula bannabyabufuzi.
Kino kijje abasiramu mumbeera nebayimuka nebatandiika okulekanira wagulu nga bwebagala okusaala kutandike kubanga obudde bugenze.
Bagezezako okubakakanya nga buterere okutuusa lwe bampoddose nebatandiika okusaala.
Sheikh Saddam Ayubu yetondedde abagenyi ku lwabasiramu era navumirira ekikolwa saako neneyisa yabayisiramu okunabira banabyabufuzi mu maaso.
Ategezeza nti balina ekyetaago kye mmotoka ya district Khadhi eyobukadde 300 nga bano bebamu ku bagenyi bebabadde basubira okubawa ku sente.
Ye minisita we byemirimu n’entambula Gen Edward Katumba Wamala mu bubaka bwe obumusomeddwa Ssentebe w’omuzikiti gunno Hajji Juma Were asabye abakiriza okusonyiwagana saako n’okukaanya kubanga ebikolwa bino biviriddeko ettemu okweyongera mu ggwanga.
Ye atwala ebyokulonda mu disitulikiti ye Mukono Mark Muganzi Mayanja akikiridde sabawandiisi wakakiiko ke byokulonda Leonard Mulekwa akunze abayisiramu okwenyigira mu byobufuzi saako nokugoberera enteekateeka zonna ezakakiiko ke byokulonda.
Omubaka we kibuga Mukono Bakireke Betty Nambooze nga ono yekka yakiriziddwa okwogera asabye abasubuzi okwegata ku bakulembeze okulaba nga bogeza eddoboozi limu kunsonga y’omusolo ogwekanamye.
Agambye kino kiviriddeko n’abasubuzi okuggala bizinesi zabwe, nategezza nga ye bwatawakanya misolo wabula ayagala gibeere misamusamu ate nga gyabwekanya nga buli muntu agiwa.