Wabaddewo akasattiro mu kusaala Eid Alfitr kumuzikiti e Kasangalabi mu district y’ e Mukono emmotoka kika Kya ‘drone’ etabaddeko number plate bwatuse nga erimu abambaridde emigemerawala ne bakwata omusiramu ategerekeseko erya Hussein nebabulawo naye.
kino kiresewo akasattiro kumuzikiti guno naddala mu bakyala ababunye emiwabo olwekikolwa kino.
Wabula ensonga entuufu evirideko okukwatibwakwe tetegerekese.
Mu kaseera kokubulira, Khadhi wa Greater Mukono Sheikh Abdul Noor Kakande essira alitadde ku nkuza embi eyabaana ebatusiza nokutuyobola abantu abakulu muggwanga.
Kakande abadde omukaawu alabudde abasiramu naddala abavubuka okwewala omuze gwokuvuma abantu abakulu kubanga kino kibaleka awantu awazibu era nabasaba abatali mu bya bufuzzi okubyewalira ddala bakole ssente.
Hajji Umar Ddumba bwatuuse okwogera obwanga abwolekezza kitongole e kiwooza Ky’ omusolo (URA) kyagambye nti kyaletedde abasubuzi okugalawo amaduuka gabwe olwo abasiramu nebalyoka badooba okunonya ebyokulya nokwambala.
Ddumba ayongedde nalabula gavumenti kukibba ttaka ekisuse mu gwanga nagisaba okuvaayo nga embera tenasajuka.