Gavumenti ya Uganda ne China batongoza technologiya agenda okuyamba kubantu mu district ye Kalungu nebitundu ebilinaanyewo okulakulana.
Bo abakulembeze be Kalungu baanirizza entekateeka y’okubangula abatuuze mu tekinologiya wa kkompyuta ku bwererere.
Kino kigenderedwamu okubawa obukoddyo bw’okutundira eby’amaguzi byabwe ku mitimbagano n’okukolerako eby’enjawulo ebivaamu ensimbi.
Omuwabuzi w’omukulembeze owokuntiko- Vincent Ssempijja ye yayanjudde Pulojekiti eno emanyiddwa nga The Huawei DigiTruck project. ku mukolo ogwabadde mu kisaawe ky’e Bulakati e Lukaya
Pulojekiti eno evujjirirwa gavumenti ya China ng’eyita mu kkampuni ya Huawei Technologies Uganda,.
Ssempijja yategeezezza nti abalimi n’abalina obukolero ne bizinensi entonotono okusinga be bagenda okuganyulwa.
Bano bajja kuweebwa obukoddyo bwokweyambisa kkompyuta n’essimu okulaga eby’amaguzi byabwe eri abaguzi mu nsi yonna.
Kino kijja kubasobozesa okuyingiza ensimbi ezeegasa kyokka yabakubirizza okukulembeza obuyonjo n’omutindo.
Abalala kuliko ba makanika naddala ab’ebidduka by’ensangi zino ebyetaaga kkompyuta okukanikibwa,abayiiya mu ngeri zonna ez’ekiddugavu.
Era, ne banna katemba nabo baasabidwa okulaga kye basobola okuguza ensi beefunire ensimbi nga basinziira ku mitimbagano.
Ken Luo nga yakulira Huawei Technologies mu Uganda yannyonyodde nti essomero lino eritambula liteekeddwa ku mmotoka lukululana ezimbiddwako ekyefananyirizaako ekibiina omuli kkompyuta.
Kompuuta zino zikolera ku maanyi g’enjuba,yintaneeti n’ebirala ebyetaagisa nti egenda okwetoloola obunyomero bwa Kalungu bwonna,nga baakusomesa abantu 40 buli lunaku okumala ebbanga eritali ggere.
Abakulembeze okuli Ssentebe wa Disitulikiti eno Ahmed Nyombi Mukiibi, RDC Dr.Paddy Kayondo ne Frank Kajumbi ow’abavubuka, ku lwa banaabwe baasiimye entekateeka eno.
Baasimye Ssempijja okusakira ekitundu ne bakubiriza abatuuze okuyayanira entekateeka eno gye baagambye nti bagirinamu essuubi nti tegenda kuleka banna Kalungu kyekimu singa ekwatibwa bulungi.
END.