Abasuubuzi mukibuga Masaka bayingidde olunaku olwokusatu nga baggadde amaduuka naddala agaabo abasuubuza ku Hobert Street nemubikuubo ebirala.
Bano balaga obutali bumativu olwomusolo ogususse naddala ogwa Electronic Fiscal Receipting and Invoicing solution (EFRIS).
Bano nga bakulembeddwamu Maria Nakacwa amanyiddwanga Muvuga ggaali,Nakibuule Robina,Engnear Bbaale Mugera ssentebe wabatunda ebizimbisibwa nabalala bategeezezza nti sibakuggula maduuka okutuusa ng’omukulembeze weggwanga akoze kunsonga zaabwe.
Mulukungaana lwabannamawulire lwebatuuzizza kuyafeesi zekibiina ekitaba abasuubuzi ki Masaka City Traders Association, amyuka ssentebe wabasuubuzi Kasumba Vicent agamba nti basazeewo amaduuka gasigale nga maggale okutuusa nga ensonga zabwe zikoleddwako.
Wabula newankubadde guli gutyo ekitongole ekiwooza kyomusolo muggwanga kyategeezezza nti omusolo guno ogwa EFRIS ssimupya wabula abataagala kuguwa bagezaako kwagala kulemesa ababadde baguwa ekitajja kusoboka.
Omuwandiisi wekibiina kya MACITA Joachim Kizito ategezezza nti abali mukitongole ekiwooza kyomusolo tebamanyi nnaku gyebayitamu kuba ensassula yomusolo guno etategerekeka ebamaliddewo nessente zebatandisa amaduuka.
JOACHIM KIZITO
END