Abasumba babalokole abawangalira mu bizinga bye Buvuma bafunye akamwenyumwenyu oluvanyuma lwo kudukirirwa n’obuyambi bwemmere.
Obuyambi bwemmere omubadde kilo ezisuka 250, sabuni ne sukaali ziwereddwayo ekibiina kya Love Peace and Unity Pastors Destiny Forum Uganda ekitaba abasumba ba balokole mu Greater Mukono wamu ne Biyinzika Enterprise.

Bwe babadde bakwasibwa obuyambi bwe mmeere ku mwalo e Kiyindi omuyima we kibiina kino Omusumba Samuel Lwandasa agamba nti babadde bafuna amassimu agenjawulo ng’abasumba balajjana olw’okubulwa eky’okulya.

Omusumba Tom Ogeya kulwabasumba abalala agamba nti e Buvuma bali mu mbeera mbi nnyo kuba enkuba yatwala emmere yabwe yonna saako n’amayumba , nga kino bagattako ne tambula okuva e Buvuma mu lyato kyetagisa emitwalo ettano.
Ogeya yenyamidde nolwomuwendo gwa balwadde buli lukya gweyogera mukiseera kino ekyomuggalo.