Abamu kubakulembeze babasiraamu bakangudde kuddoboozi eri abamu kubanene mu gavumenti ya Uganda abatandise okuyingirira ensinza y’obusiraamu.
Abalabe bobusiramu berayiridde okufafagana nabo abaagala okwaziina kumizigiti kuveewo.
Bano nga bakulembeddwamu omumyuka wa Super supreme Mufuti wa Uganda kuludda lw’e Kibuli Sheik Muhamad Kakooza bebalaze obutali bumativu.
Bano basinzidde mukusaala Eid Elfitir kumuzigiti omukulu mukibuga Masaka.
Sheik Muhamad Kakooza yakikiridde abakulembeze bobusiramu abokuntikko yategezeza nti omukungu omu mu gavumenti eyaleese ekiteeso ekyo bamumanyi bulungi naye bamulabudde nebanne abalina endowooza eyo mu gavumenti ya Uganda obutakemebwa kuddamu kutambaala busiraamu.
Bano bebuuza nti nga eddiini endala ezisabira mumaloboozi agawaggulu zzo tebalina kyebazoogerako.
Okwogera kunsonga eno kiddiridde Districk Kadth we Masaka kuludda lw’eKibuli Sheik Sulait Ssentongo okulaga obutali bumativu kunsonga y’emu nga y’ebuuza lwaki buli musiraamu okusomesa abaana eddiini nebirala babalaba nga abatendeka abatujju.
Kunsonga eno Hajji Muhamad Kateregga Musaazi omumyuka w’omubaka wa gavumenti mukibuga Masaka atwala division ya Kimanya Kabonera,avuddeyo kulwa gavumenti mukusaala kuno nagumya abasiraamu nti kino tekisoboka kubaawo nti kuba nebweriba tteeka ly’abutonde elyebirekaana tebalina ngeri gyebalimenyamu.
Okusaala kwakulembeddwamu Imum womuzigiti guno Sheik Uthman Ggaliwango era kwetabiddwamu abakungu okuva mu gavumenti eyawakati neye Mengo
END.