Kyadaaki abatuuze ba Lukaya Town Council ne Bukulula mu Kalungu bafunye ku ssuubi nti bandiwona ekizibu ky’omujjuzo gw’amazzi g’enkuba efuddemba ensangi zino.
Amazzi gazingako ekitundu ebbanga erikunukiriza mu mwezi mulamba, entekateeka z’okusima emikutu egigatambuza ziteredwako engalo.
Omulimo guno oguwomeddwamu omutwe ekitongole ky’enguudo ekya UNRA n’omuwabuzi wa Pulezidenti Vincent Bamulangaki Ssempijja mu kiseera kino gugenda bukwakku mu bitundu bya Juma Cell, Kawanda,Kalumba Estate,Lutente, Agip Cell n’ewalala.
Eno abatuuze abasinga baali bawaririzibwa okudduka mu bizimbe ebisulwamu ne bya bizinensi oluvannyuma lw’amazzi gano okwegattamu obubi bwa kabuyonjo ezaabomoka ne ganjala buli wamu.
Embeera eno ebadde etadde ekitundu mu katyabaga k’okulumbibwa endwadde enkambwe eziva ku bucaafu,wamu n’enjala kubanga ebirime okuli n’ebitooke ebiri mu mazzi nabyo bikaze.
Kyokka abakulembeze okuli Gerald Kigundu amyuka Ssentebe wa Disitulikiti eno naba LCI wamu n’abamu ku batuuze bavumiridde eky’abamu ku banaabwe okugaana okuwaayo ebitundu byabwe biyisibwemu emikutu nga baagala kusooka kusasulwa.
Bagamba kino kikolwa kya butalumirirwa balala,n’okukulembeza eby’obufuzi eby’enjawukana.
Basiimye Ssempijja olw’okutuukiriza obweyamo bw’ebigoma n’ebyuma bye yasuubiza kuntandikwa y’omujjuzo guno ne balaga essuubi nti ekizibu ky’okubooga kw’amazzi kyandivirawo ddala.
Ssempijja mu kuwaayo ebigoma ayogeddeko ne minisita w’ebyentambula n’emirimo Gen. Edward Katumba Wamala ku ssimu n’amunyonnyola embeera eno era naye nasuubizza okwongera okuwagira omulimo guno ng’ayita mu minisitule ye,n’asiima abatuuze abawaddeyo ebitundu byabwe biyitemu emikutu nga tebataddewo bukwakukizo.
ENDS.