Abalimi bemmwanyi mubbendobendo lye Masaka bali kubunkenke olwobubbi bwemmwanyi obutagambika obususse.
Kino kivudde kubbeeyi yemmwanyi eyeyongedde era abamu batandise nokukozesa obukodyo obwenjawulo mukubba emmwanyi zino omuli okutema emiti okuli ezengedde nebakuulita nagyo nobulala.
Wetwogerera endebe yemmwanyi embisi eri wakati wemitwalo 35000-40000 ate kilo yakase eri ku 12500.
John Bashiiza ssentebe wabalimi b’emmwanyi abegattira mukibiina kya Kawanda Sub County Coffee Farmers Cooperative Society mu district ye Ssembabule agamba nti mukiseera kino abamu namayumba bagaddusemu basula bweru okukuuma emmwanyi zabwe.
Ngojjeeko ezibbibwa munnimiro naye nezanikibwa mumpya nazo bazibba.
Mu district ye Kalungu nayo abalimi bemmwanyi basula bweru olwobubbi era Kisaka Musa omu kubalimi bemmwanyi abakukuutivu agamba nti obwavu bususse.
Ate mu district ye Bukomansimbi,Sserwadda Sowedi Sssentebe wabalimi bemmwanyi abegattira mukibiina ki Kibinge Coffee Farmers Cooperative Society naye atutegeezezza nti ate ekiri ewabwe kifumba mutuku.
Abamu kubalimi baliko amakubo gebataddewo gebayitamu okukuuma emmwanyi zaabwe newankubadde baagala abebyokwerinda babayambeko okubongera kubukuumi.
Omwogezi wa police mubbendobendo ly’e Masaka Twaha Kasirye akakasiza nti emisango egisinga okuloopebwa ku police mubbendobendo lino gyabubbi bwa mmwanyi era nga abebyokwerinda bataddewo ebikwekweto mwebagenda okuyita okukwatagana nabalimi okukwata ababbi bano.
END.