Abakozi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA bazzeemu okulumba Palamenti nga bekalakaasa olwobutabasasula musaala gwabwe kati emyezi mukaaga.
Bano be bakola emirimu gya bulijjo okuli okwera enguudo, okulongoosa ebitebe wamu nokuyoola ebisasiro. Bano ne ku bbalaza baalumba Palamenti wabula olunaku lwegulo Sipiika yayise ba Minisita ba Kampala okulabikako mu Palamenti anyonyole ku nsonga eno.
Bano bawera obutava ku Palamenti okutuusa nga basasuddwa. Wabula Sipiika Anitah Among oluvannyuma awaliriziddwa okuva mu offiisi ye najja nayogerako gyebali era nabasuubiza nti bagenda kusasulwa.