Abaana abawangaalira kunguudo mukibuga Masaka bekokkodde abazadde okulemererwa okubafaako ekyabavirako okuggwera kunguudo mubulamu bwebategombangako okuva mubuto.
Bano nga kati babudaabudibwa ekitongole kyannakyewa ki Child Restoration Outreach bagaseeko nti n’ obuwanana bwensimbi obusasulwa mumassomero ga gavumenti nebirala byabagoba awaka.
Gyebuvuddeko ensi yonna yabadde yefumitiriza kubulamu bwabaana abawangaalira kunguudo wansi womulamwa ogugamba nti ‘buli mwana ayina gyasibuka’.
Mukujaguza olunaku luno ekitongole kya Child Restoration Outreach kyarujaguzizza nabaana b’okunguudo z’omumasaka abasoba mu 80.
Abamu kubaana bategeezeza nga bwebatandyagadde kubeera kunguudo naye entalo eziri mumaka eziva kumwenge nebiragalalagala,okubabinika emirimo egitajja mumyaka gyabwe bisigala biberarikiriza.
Sound: ABAANA B’OKUNGUUDO
Akulira ekitongole kino e Masaka Nkolenta Adah Odu agamba nti mubbanga lyamyezi esatu gyokka begatiddwako abaana abasoba mu 80.
Wabula alaze okutya nti bebatanatuukako banji ate nga omwaka oguwedde (2023) wegwaggwerako nga balina 120 bokka.
Obuzibu okusinga abutadde kubazadde abaasuula obuvunanyizibwa bwabwe nasaba gavumenti okussaawo amakubo agakugira abaana bano okujja kunguudo.
Agamba nti jjebakoma okweyongera kunguudo bafuuka babulabe.
Sound: NKOLENTA ADAH
Abaana bano okusooka bawereddwa abalyoyi bemyoyo okubabudaabuda era bano bakulembeddwamu Immaculate Kyakwita akulira ekitongole kya scripture Union mubbendobendo ly’e Masaka.
Okusinziira ku Kyakwita, kyebazudde abaana bano betaaga okubudaabuda ennyo nokubagazisa eddiini zabwe kuba balina obusungu bunji nga buva kwebyo byebaayitamu ebyabaletera okwekyawa nokudduka ewaka.
Akulira office y’abaana namaka ku police mukibuga Masaka Rose Namwanje alabudde abazadde abalemezza obutabanguko mumaka gaabwe.
Ono akattiriza nti bwebusinze okuvaako kanaaluzaala okusinziira kumisango gyafuna buli lunnaku era nasaba abazadde okweddako bataase abaana okudduka ewaka.
Sound: Rose Namwanje
END.