Wabaddewo akanyolagano wakati wa poliisi n’abavubuka abegatira mukisinde kya People Power e Mukono bwe balumbye offiisi ya RDC Fred Bamwiine nga bakute embimpadde ebisaba okunyonyolwa ensonga eyavirako munaabwe okukubwa omusirikale wapolisi amasasi.
Eric Mutasiga era nga yemukulu wa e ssomero lya Merry Times Primary School elisangimbwa mu Ggulu A mu kibuga Mukono eyafiridde mu ddwaliro lye Mulago sabiti eno oluvanyuma lwokubwa amasasi omwezi oguwedde.
Abakwate batwaliddwa ku poliisi e Mukono nebagulwako emisango ebbiri
okuli ogw’okukuuma omuliro mu bantu saako n’okukuba olukugaana olutali mu mateeka.
Abavubuka banno ababadde bakulembeddwamu omukwanaganya we kisinde kya People power mu district ye Mukono Lydia Namayengo babadde balekanira waggulu ngabasaba poliisi ekwate omusirikale eyakola ekikolwa ekyeko.
Namayengo abadde n’ebanne abarala okuli Ivan Tamale Nkoyoyo, Peter
Kimbugwe Mugalu ne Henry Lubanga bano abazze nga bakutte ebipande era olutuse poliisi ng’ekulembeddwamu atwala poliisi ye Mukono Ismail
Kifudde nebakwatirawo ne babakanyuga ku kabangali.
Namyengo okulembeddemu banne agamba nti bo bavudeyo okuwanirira abamaka gomugenzi nga bagala omusirikale wa poliisi e yakuba omugenzi
akwatibwe bamuvunane mu mbuga za mateeka.
“ Twagala RDC, DPC, DISO , omudumizi wa poliisi mu ggwanga saako
n’okwogezi wa poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe okuvaayo bunambiro binnyonnyole bana Uganda kiki ekituufu kye balina ekikusike ekyavirako okukuba Mutasiga amasaasi agamuviriddeko okuffa saako n’okugenda mu maaso n’okulinyirira eddembe ly’abantu.” Bwatyo Namayengo bwategezezza.
Abantu abalala bangi bazze bakubwa amasasi mumbeera yemu okuri Margreat Nanyunja 80 owe Kyegera, Wilber Kawono owe Kampala, Elvelyn Namulondo owe Jinja, Charles Sanga ne Vincent Serungi okuva e Mukono ate nga n’abarala okuli Shadi Kauda, Alex Oryem, Ssebudde Kassim n’abarala bangi bali mu kunyiga biwundu.
Okusinzira ku maama w’omugenzi Joyce Kizito Mutasiga agamba ye ayagala gavumenti eveyo evunane omupoliisi oyo eyakuba mutabanyi we esasi eyamuvirideko okufa.
Mutasiga yakubibwa esasi mu kisambi nga 3/4/2020 ku kyalo
Wantoni ku luguddo oludda e katosi ku ssawa emu ez’akawungeezi bweyali
agezako okutasa omusisi wa chapatti Alex Mubendo abasirikale bwe bali
bamutwala mu bisera bya curfew.