Atwaala poliisi e Mukono Ismael kifude agudde mulukwe lw’ababodaboda abagufudde omuze ensangi zino okugula n’okugingirira empapula ez’eddwaliro ze balaga eri abaserikale ku (road block) bwe babeera bakwatiddwa, nga baweese balwadde ekintu ekyandiviirako okusasanya e kirwadde kya Covid 19.
Kifude agamba nti bodaboda baziteekako amannya olwo ne bazikwaasa abasaabaze be babeera batisse ne babalagira okwefulira ddalala abalwadde basobole okubatuusa gye balaga nga tebataaganyiziddwa.
Bino abyoogeredde mu lukiiko lw’ab’abakulembeze ba bodaboda olutegekeddwa RDC Fred Bawmine ne meeya w’ekibuga Mukono Goeorge Kagimu era n’abalabula nga kwogasse n’ amalwaliro agabawa amabaluwa nti bagya kuvunaanibwa ssinga bakwatibwa.
Bbo aba bodaboda abakulembeddwa Isa Mawejje basabye omukulembeze w’eggwanga alowooze ku ky’okubagya ku muggalo nabo batandike okukola olw’embera embi gye bayitamu.
Bamwine agamba nti bakaanyiiza ku kiwandiiko naba bodaboda kye bagenda okumuwa akitwale eri abavunaanyizibwa ku nsonga yaabwe balabe bwe bayinza okubakkiriza okuddamu okukola emirimu gyabwe.